Indirimbo ya 75 mu CATHOLIC LUGANDA
75. EBIRABO TULEETA
Ekidd: | |
: Ebirabo tuleeta Ffe abaana abalondemu Obulamu tusaba Ggwe Ddunda ataggwaawo. | |
1. | Tuleeta omugaati Vviini eno gye tufunye Biibyo ebirabo byo Taata bisiime. |
2. | Yongera okulunngamya Omusaana n‟enkuba Bibaze bye tusiga Naffe twesiime. |
3. | Lunngamya abatambizi Basaserdooti bonna Abakola omulimu Gw’Ekitambiro. |
4. | Kkiriza bye tukuwa Ffe abaana abalondemu Tuwenga obulamu bwo Mukama Ddunda. Tusaba kino ffenna |
5. | Yongera abakozi Mu mulimo gwo guno Ebitambiro byale N‟eddiini etinte. |
6. | Tusaba kino ffenna Nga butuuse obw‟okufa Otutwale mu ggulu Gy‟oli twesiime |
By: Fr. Gerald Mukwaya |