Indirimbo ya 76 mu CATHOLIC LUGANDA
76. EBITONE TUTWALE
Ekidd: | |
: Ebitone tutwale eri, eri ku mwaliiro Kitaffe Nnamugereka Ddunda anaabisiima. | |
1. | Tutwalire Omukama Anaabisiima ka tutwale Tumuwe Omukama Anaabisiima ka tumuwe Tutonere oyo Taata Anaabisiima ka tutone Tugemulire Omukama Anaabisiima ka tugemule Tuddize Omukama Anaabisiima ka tumuddize Ku ebyo by’atuwa bulijjo. |
2. | Ddunda ebitone tutegeka naye tunaakuwa ki? Tuli baavu tunaggya wa ekiggya, Mpozzi ka tutoole byonna ebiriwo, Ffenna ffenna obulamu buli mu Ggwe. |
3. | Omugaati Evviini biibino ku nsi bye tulimye Tuli baavu ebyonziira eby‟edda tibigasa; Mpozzi ka tutoole ku ebyo ebirimwa Ffenna ffenna obulamu buli mu Ggwe. |
4. | Ffe tuli babo, Ggwe gwe twesiga emirembe gyonna, Tuli baavu tunaakuwa ki ffe? Mpozzi ka tuleete byonna ebiriwo, Ffenna ffenna ka tukuddize bye tusobodde. |
5. | Bye tuleeta Ggwe Kitaffe Taata bikkirize Tuli baavu tunaakuwa ki luno, Leka nno ffe tuleete leero ebiriwo Ffenna, ffenna ka tukuddize bye tulina kati. |
By: Alphonse Ssebunnya |