Indirimbo ya 77 mu CATHOLIC LUGANDA

77. ENGALO ENSA

1.Engalo ensa, engalo ensa ziwoomera nnyini zo, ataddize Ddunda obadde ki?
Anti ekitiibwa ky‟abasoma, kwe kugabira Lugaba ow‟ettendo ku bintu by‟awadde.
Kiki ekisaanidde okumuwa? Kiki ekisaanidde mu maaso go Ddunda?
Nneeyanze nange okuyitibwa, okukuddiza Ddunda Lugaba.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
2.Engalo ensa, engalo ensa ziwoomera nnyini zo, ataddize Ddunda obadde ki?
Anti ekitiibwa ky‟abasoma, kwe kusaanira ogabire ow‟ettendo Mugabi wa byonna.
Kiki ekisaanidde okumuwa? Kiki ekisaanidde mu maaso go Ddunda?
Nneeyanze nange okuyitibwa, okukuddiza Ddunda Lugaba.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
3.Engalo ensa, engalo ensa ziwoomera nnyini zo, weebaze Ddunda by‟akuwa
Anti okugabira nnyini byo, kwe kulaga bw‟omumanyi bw‟osiima Katonda gw‟oddizza.
Kiki ekisaanidde okumuwa? Kiki ekisaanidde mu maaso go Ddunda?
Nneyanze nange okuyitibwa, okukuddiza Ddunda Lugaba.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
4.Omugabi eyeevaamu …. Katonda gw‟ayagala.
Omugabi eyeevaamu …. Katonda gw‟ayagala.
Awaayo ky‟alina, n‟atoola byalina, Katonda gw‟ayala.
Twala, Ssebo twala, twala Ddunda amakula go. x2
5.Omugabi asanyuka ……..Katonda gw‟ayagala.
Omugabi asanyuka …….. Katonda gw‟ayagala
Atakodowala ……….. n‟awaayo ky‟alina Katonda gw‟ayagala.
Ekidd:
: Ggwe, Ssebo Omutiibwa Ssebo omuyinza, Ssebo omulungi,
Ssebo Kitaffe, Mugabi wa byonna.
Yee …. biibyo bitwale, biibyo bisiime, Ssebo bitwale
Bye birabo byo Ddunda. (Biibyo bitwale)
Ebivudde mu ffe abaana bo Ddunda
Nga bikwoleka anti okusiima okwaffe.
Nsiima, nsiima, nsiima, nsiima, nsiima, nsiima. x2
By: Fr. James Kabuye

Uri kuririmba: Indirimbo ya 77 mu Catholic luganda