Indirimbo ya 78 mu CATHOLIC LUGANDA
78. KATONDA LUGABA OGULUMIZIBWE
Ekidd: | |
: Katonda Lugaba ogulumizibwe! Katonda Lugaba ogulumizibwe Katonda Lugaba ogulumizibwe Ogulumizibwe emirembe n’emirembe! | |
1. | Ye Ggwe alabirira abatonde bonna, Ye Ggwe atuwa ddala ebitonde byonna, Ye Ggwe agabirira abatonde bonna, Ffenna otukkusa weebale, Kitaffe. |
2. | Ye Ggwe alabirira ebisimbe byaffe, Ye Ggwe atubaliza ebirime byaffe, Ye Ggwe afukirira ennimiro zaffe, Byonna ne bibala … weebale, Kitaffe. |
3. | Ye Ggwe atufunira evviini ku nsi, Ye Ggwe ameza enngano esimbwa ku nsi, Ye Ggwe atukuumira emmere yaffe, Ffenna titujula … weebale, Kitaffe. |
4. | Ye Ggwe atutonnyesa enkuba ku nsi, Ye Ggwe ayasa empola omusana ku nsi, Ye Ggwe eyalagira ebiseera ku nsi, Bibe nga bimala … weebale, Kitaffe. |
5. | Ye Ggwe awulugumya amayinja gonna, Ye Ggwe akuluggusa n‟emigga gyonna, Ye Ggwe eyalagira amazzi gonna, Wawa we gakoma … weebale, Kitaffe. |
6. | Laba tuli babo Katonda waffe, Laba tuli babo tukwewa ffenna, Ye Ggwe gwe twesiga emirembe gyonna, Ffenna ka twebaze… weebale, Kitaffe. |
By: Fr. James Kabuye |