Indirimbo ya 79 mu CATHOLIC LUGANDA
79. LABA EBIRABO BYAFFE BINO
Ekidd: | |
: Laba laba ebirabo byaffe bino Omugaati n’evviini ebivudde mu ffe Abaana bo, tubikutonera Taata bitwale | |
1. | Wamma Mukama ebivudde mu ntuuyo z’abaana bo Ggwe atalundira mpeera Bye tukuweereza biibyo bitwale. |
2. | Ggwe Kitaffe Ddunda laba bwe tujja N‟ebirabo ebivudde mu ffe Mu ntuuyo mu kutegana okwa buli ngeri Mala gakkiriza olw‟Omwana wo Yezu. |
3. | Tukwebaza Ggwe okukkiriza bino Wewaawo byonna si birungi Olw‟obunafu bwaffe olw‟ensobi eziyitiridde Mala gakkiriza olw‟Omwana wo Yezu. |
4. | Eno evviini n‟omugaati ffe bye tuleese N‟omutima ogumenyese, Ke kabonero akalabika ng‟otuyamba era oli naffe Mala gakkiriza olw‟Omwana wo Yezu. |
5. | Ekirabo ekikulu kye tukuwa kati nga ffe abaana bo Gye mitima n‟okwagala kwaffe, Mala gakkiriza olw‟Omwana wo Yezu |
By: Joseph Lukyamuzi |