Indirimbo ya 80 mu CATHOLIC LUGANDA
80. LEKA TUTONE
Ekidd: | |
:Leka tutone ku bingi by’atugabira Ddunda Tumuddize nnyini byo Leeta ekirabo kyo, twala ku mwaliiro, Tumuddize Omukama Ddunda, anaabisiima. | |
1. | Ddunda twebaza byonna by‟otuwa, Ng‟ogabira abatonde – ffe abaana bo, Ku bingi by‟otuwa naffe kwe tutodde tukutonere Biibyo Ssebo siima. |
2. | Ddunda ng‟ogaba, Ggwe ng‟osaasira Oyagala abatonde – ffe abaana bo, Ggwe bingi by‟otuwa, tojuza na muntu Ffe bwe tusaba, Taata owulira Ggwe . |
3. | Wa abantu bo, ffenna ekyokulya, Ng‟owonya n‟abalwadde, ng‟osaasira, Tuyambe, toleka bantu bo tuwoobe, Ggwe tuwulire, yamba Ssebo yamba. |
4. | Wa abantu bo, ffenna amaanyi go Ffe abanafu ku bwaffe – ffe abaddu bo, Kitaffe by‟otugamba ebyo tutuuse Tukuwulire, ffe nga twesiga Ggwe. |
5. | Ggwe ng‟owa ababo, byonna by‟obawa, Ng‟ogabira abatonde – ebitone byo, Byonna Ggwe by‟obawa, bo olwo balyoke babyeyambise Bo bakuweereze Ggwe |
By: Ponsiano Kayongo – Biva |