Indirimbo ya 81 mu CATHOLIC LUGANDA
81. MBEERA GGWE, GGWE WANTONDA
Ekidd: | |
: Mbeera Ggwe, Ggwe wantonda, Mbeera Ggwe, Ggwe wantonda, Ayi Mukama, ddala ddala nkukkiriza! | |
1. | Nkedde ku makya, ayi Mukama Ne ndeeta gy‟oli ebirabo byange bino Bikkirize, bibe Ekitambiro. |
2. | Kati ekindeese kutambira Mwenna aboluganda, munnyambe, Tube wamu, tuweereze Ekitambiro. |
3. | Abeli ne Jjajja Yibraimu Era Melekisedeki, bye baakuwa wabisiima, Naffe bye tuleese, bikkirize! |
4. | Guno omugaati n‟evviini, ayi Mukama, Ddala bye ndeese eyo gy‟oli Obitukuze, bibe Ekitambiro. |
5. | Laba, nneewaddeyo, ayi Mukama, Byonna by‟oyagala, nnaabikolanga Naawe ng‟ombedde, byonna nnaabikola, tibinneme! |
By: Fr. Expedito Magembe |