Indirimbo ya 82 mu CATHOLIC LUGANDA
82. MUSITUKE, TUWEEREZE EBIRABO
Ekidd: | |
: Musituke, tuweereze ebirabo Omukama Musituke Ffe tuweereze ebirabo Omukama, Musituke Tuweereze Musituke Tuweereze Tuweereze Bonna: Tuweereze ebirabo Omukama, abisiime. | |
1. | Omugaati n‟evviini biibyo Tubitaddewo biibyo ebyaffe; Abaana bo, laba ffe tubikwasa Ggwe; Omuzirakisa Katonda Ggwe owaffe Bikkirize. |
2. | Ggwe omusaasizi siima ebyaffe Bituviiremu enneema enfaafa. Bye tukuweereza ffe abaana bo aboolo Olw‟obulungi bwo, Katonda Ggwe owaffe, Ggwe bisiime. |
3. | Ebya Melekisedeki ow‟edda Oyo Kabona wo omukulu ow‟edda Yabikuweereza ku luli n‟obisiima Kye tusaba kati n‟ebyaffe bikkirize Obitwale! |
4. | Amakula go gaago, Taata Tugagatteko emitima egyaffe Ggwe, Trinita Katonda Omu ati, Ffe abaana bo laba kati ffe twewa Ggwe Otutwale! |
5. | Kye tukusaba: Siima ebyaffe Bye tukuweereza n‟ono Kristu; Tumweyune era tumulye, tumweyanze; Kye kyokulya, kye kyokunywa kye twegomba Ye Yezu! |
6. | Eklezia wo, Taata yamba; Omuyiweko enneema nfaafa, Ng‟omutukuza, ng‟omwongera amaanyi, Ng‟omuliisa ng‟omwongera ettendo, Ggwe muyambe. |
7. | Agulumizibwe Taata owaffe; Agulumizibwe Yezu Omwana, N‟omuganzi Mwoyo oyo ow‟ettendo Ggwe Trinita Katonda ggwe owaffe, Ggwe tutwale. |
By: Fr. Joseph Namukangula |