Indirimbo ya 84 mu CATHOLIC LUGANDA

84. NNAMUGEREKA WAVA EBINENE


1.Nnamugereka wava ebinene,
tukwebaza nnyo Katonda waffe …..
2.Byonna Ggwe obituwa tukwesiga nnyo
Ddunda Kitaffe tukwekola ……..
3.Nnamugereka ffenna atumanyi,
tukwesiga nnyo Katonda waffe …..
4.Wagiwangawo ensi amakula,
tukwebaza nnyo Katonda waffe …..
5.N‟ebigirimu byonna obimanyi,
tukwebaza nnyo Katonda waffe …..
6.Wagiwundamu byonna ebinene,
tukwebaza nnyo Katonda waffe …..
7.Byonna by‟olaze ku nsi binene,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
8.Tulabira wa ffenna abalamu,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
9.Nnaakugamba ki ampa obulamu,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
10.N‟obuyinza bwo byonna bifuge,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
11.N‟ebimera byonna bikuze,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ………
12.N‟ebirime byonna bibaze,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
13.N‟omusana nagwo gutuwe,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
14.N‟enkuba yo nayo gituwe,
tukwebaza nnyo Katonda waffe ……..
15.Nnannyinimu ffenna tulabe,
tukwesiga nnyo Katonda waffe ………
16.Wa ekyokulya bonna abanaku,
tukwesiga nnyo Katonda waffe ……..
17.Ne bamuzibe bawe okulaba,
tukwesiga nnyo Katonda waffe ……..
18.N‟abalira bawe okuwona,
tukwesiga nnyo Katonda waffe ……..
19.N‟abatambula bonna obamanyi,
bakwesiga nnyo Katonda waffe ……..
20.Tusaba kimu ffenna okulaba,
nga bw‟otubeera Katonda waffe ……..
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 84 mu Catholic luganda