Indirimbo ya 85 mu CATHOLIC LUGANDA
85. NZE NNGENDA NTYA
Ekidd: | |
:Nze nngenda ntya eri Omukama Ddala ddala nngenda ntya Nga sirina kye mmutonedde? Ka mmutonere nze bye nnina Ayi Mukama bikkirize. | |
1. | Ayi Mukama ndi mwana wo Kyokka ayi Mukama nkujeemera Ne nkusaba kati onziriremu Nze ayi Mukama aboneredde. |
2. | Omugaati gwo gwe ndeese Ng‟era n‟evviini ngitaddeko Bikutambirwe olwaleero Mu Yezu Kristu Omwana wo. |
3. | Ka tukwebaze Ggwe by‟otuwa Ffenna baganzi bo abakumanyi Byonna ayi Mukama biva wuwo Era ayi Mukama bidda wuwo. |
4. | Ekirabo ekisembayo Ye Ggwe ayi Mukama abaana bo Emitima ka gibe gigyo Ffenna nga twagala by‟oteesa. |
By: Fr. Gerald Mukwaya |