Indirimbo ya 86 mu CATHOLIC LUGANDA
86. OSTIA N’EVVIINI ENO
Ekidd: | |
: Ostia n’evviini eno bye tuleese Bye birabo byaffe byennyini, Ostia n’evviini eno bye tuleese,bikkirize, ….. Kitaffe, Kye Kitambiro kyaffe eky’olubeerera, Ggwe Katonda waffe kye tukuweereza. | |
1. | Kye kiikyo ekyalangwa mu biwandiiko Nga kiringa ekyaweebwayo luli edda ennyo, Ng‟ekya Melekisedeki ow‟ekitiibwa, Eyaweerezanga omugaati n‟evviini, Ne Katonda n‟asiima Ekitambiro ekitukuvu. |
2. | Kye kiikyo ekyalangwa mu biwandiiko, “Okuva enjuba lw‟evaayo okutuusa lw‟egwa, Erinnya lyange kkulu mu b‟amawanga, Mu buli kifo balitambiririramu, Nga baweereza erinnya lyange Ekitambiro ekitukuvu.” |
3. | Kye kiikyo ekyalangwa mu biwandiiko: Endiga, embuzi bye muleeta, tibigasa. Yezu kwe kugamba: “Nzuuno, Katonda, ntuuse; Ntuukirize kye bampandiikako, okukola ky‟oyagala, Nga mpeereza omubiri gw‟ompadde mbalokole.” |
4. | Kye kiikyo ekyalangwa mu biwandiiko, Mu Senakulo lwe yeewaayo ng‟Ekitambiro, Yezu yaddira omugaati n‟awa Abatume be nti; “Mutoole mulye: Kino gwe Mubiri gwange;” Ne ku vviini nti: “Munywe mwenna Omusaayi gwange |
By: Fr. James Kabuye |