Indirimbo ya 88 mu CATHOLIC LUGANDA
88. TOOLA TUDDIZE
Ekidd: | |
: Toola tuddize Omukama by’atuwadde Omugabi omulungi ng’agabye nnyo, Nnaamuddiza ki oyo Katonda! Ha …… ataamuddize ani, akukuumye ng’oli mulamu Mukama waffe oyo……. Ha … ataamuddize ani byonna by’akoze ggwe y’akubedde. Yanjuluza, sumulula, ogabireko Omukama atasingika bugabi. | |
1. | Oli mulamu ku bwa Katonda, n‟ebyo by‟olina bye bya Katonda. Kiki ky‟olina ky‟otaafuna, wenna oli wa Katonda! Ebya Katonda biddize Katonda, obe mutuufu mu nnamula yo. |
2. | Ofunye ntoko ku bwa Katonda, toola by‟ofunye ku bwa Katonda Kiki ky‟olina ky‟otaafuna, wenna oli wa Katonda! Ebya Katonda biddize Katonda obe mutuufu mu nnamula yo. |
3. | Byonna by‟olina ku bwa Katonda, byabala ddala ku bwa Katonda, Kiki ky‟olina ky‟okungula, nga Ddunda takukkirizza? Ebya Katonda biddize Katonda, obe mutuufu mu nnamula yo. |
4. | Ogobolola ku bya Katonda, weyagalira mu bya Katonda, Kiki ky‟olina ky‟otaafuna, ku nsi eno waleeta ki? Ebya Katonda biddize Katonda, obe mutuufu mu nnamula yo. |
5. | Bw‟otunuulira ebya Katonda, n‟ebyo by‟ofunye ewa Katonda, Kiki ky‟okoze okumwebaza, wenna oli wa Katonda! Ebya Katonda biddize Katonda, obe mutuufu mu nnamula yo |
By: Fr. James Kabuye |