Indirimbo ya 90 mu CATHOLIC LUGANDA
90. TUSSE EBIRABO BYAFFE KU MWALIIRO
Ekidd: | |
: Tusse ebirabo byaffe ku mwaliiro Tuweereze Omukama, taaleme kusiima; Tusse ebirabo byaffe ku mwaliiro, Tumusabe Omukama ajje abitukuze. | |
1. | Ayi Mukama, Mukama wange Nnaayimbanga erinnya lyo ekkulu mu maaso go, Nga ndeeta gy‟oli ebirabo byange. |
2. | Ayi Mukama, Mukama wange, Ebirabo byange bino bye ndeese, Bya kukwebaza ebirungi by‟onkolera. |
3. | Ayi Mukama, Mukama wange, Ebirabo bye ntadde wano mu maaso go Kye Kitambiro, Mukama kye ntegeka! |
4. | Ku bye wampa, Kitange, kwe ntodde. Omugaati n‟evviini bino bye ndeese, N‟omutima gwange nze ngutaddeko, Nzenna nkwewadde. |
By: Fr. Expedito Magembe |