Indirimbo ya 91 mu CATHOLIC LUGANDA
91. TUKUWA MUKAMA
Ekidd: | |
:Tukuwa Mukama, biibyo ebitone, Yezu yennyini by’akuwa, Tuleese evviini evudde mu nsi eno, n’omugaati biibino, Tusaba Kitaffe n’essanyu obisiime, Saasira abatonde bonna. | |
1. | Nnamugereka Katonda w‟ensi, ow‟obuyinza ataggwaawo, Tukusinza nga twetowaza, mu maaso go kaakati, Ffekka tetusaana kujja mu maaso go, Naye tunuulira Yezu ono Omwana wo, otusaasire. |
2. | Nnamugereka Omutonzi w‟ensi, ow‟ekitiibwa ekyasukka, Tukutenda osukkulumye ku ntebe yo entukuvu, Byonna waggulu eyo, n‟eby‟oku nsi kuno, Byonna wabikola anti n‟amaanyi go, byonna bikwekola. |
3. | Tuli baana bo Katonda w‟ensi, oli Kitaffe gwe twesiga, Totusuula ffe abaajeema, ffe abeenenya kaakati, Kitaffe ow‟ettendo, jangu otuyambeko, Leero tunuulira Yezu Omwana wo, otusaasire. |
By: Fr. James Kabuye |