Indirimbo ya 92 mu CATHOLIC LUGANDA
92. TUKUWEEREZA EKIKOMPE
Ekidd: | |
: Tukuweereza ekikompe eky’obulamu Ggwe Omutonzi w’ensi, kiikino kisiime; Ggwe Omusaasizi atasingika, kiikino, kisiime; Ffe abali wano, n’ensi yonna, kitulokole. | |
1. | (Mu Bwekisiibo) Nsaasira, ayi Katonda, ng‟ekisa kyo bwe kiri, Olw‟okusaasira kwo okungi ennyo, Sangulawo ekyonoono kyange. |
2. | Nnaalizaako ddala omusango gwange nze: Era ntukuzaako, ekibi kyange kyonna. |
3. | Kuba ekyonoono kyange nkikkiriza nze: Ekibi kyange bulijjo, nze sikiggyaako na liiso. |
4. | (Mu Bwomwaka) Ensi zonna mugulumize Omukama Muweereze Omukama mu ssanyu, Muyingire gy‟ali nga mujaguza. |
5. | Mumanye ng‟Omukama ye Katonda waffe Yennyini ye yatukola tuli babe ddala, Ggwanga lye, ate ndiga za ddundiro lye. |
6. | Muyingire mu miryango gye nga mutendereza, Mu mpya ze, nga muyimba, Mutendereze mugulumize erinnya lye. |
7. | Anti Omukama mulungi, okusaasira kwe kwa mirembe gyonna Obwesige bwe bwa mazadde na mazadd |
By: Fr. James Kabuye |