Indirimbo ya 97 mu CATHOLIC LUGANDA
97. AWABA OKWAGALA
Ekidd: | |
: Awaba okwagalana n’okwagala Awo Katonda abaawo. | |
1. | Okwagala kwa Kristu kwatugatta wamu Awo Katonda abaawo Tujaguze era tukusanyukiremu ffe ,, ,, Katonda omulamu tumutye era tumwagale ,, ,, Ffe tumwagale ne mu mitima gyonna obutalekaamu. ,, ,, |
2. | Awo nno bwe tukunngaanira awamu ,, ,, Twekkaanye, tuleme kwawukana mu birowoozo ,, ,, Ennyombo embi zikome n‟empaka zikomere ddala ,, ,, Kristu Katonda abeere mu makkati gaffe. ,, ,, |
3. | Era tulabire wamu n‟Abatuukirivu ,, ,, Ayi Kristu Katonda, amaaso go mu kitiibwa ,, ,, Essanyu eritapimika era eddungi ,, ,, Emirembe n‟emirembe gyonna egitaggwaawo. Amiina. |
By: Fr. James Kabuye |