Indirimbo ya 98 mu CATHOLIC LUGANDA

98. BAKRISTU BANNANGE


1.Bakristu bannange,
Ka twegatte wamu,
Okusinza Yezu
Mulokozi wange.
Ekidd:
:Yezu nannyini kisa,
Mu Ssakramentu lye,
Ampadde omubiri gwe,
Nfunye omukisa.
2.Nneeyanze okunneewa!
Onkoze bulungi!
Leero nga mpeereddwa!
Ontonedde ebingi!
3.Mulokozi wange,
Nze nkulagaanyizza,
Okukwegombanga,
Ggwe oli mmere yange.
By: W. F.



Uri kuririmba: Indirimbo ya 98 mu Catholic luganda