Indirimbo ya 99 mu CATHOLIC LUGANDA

99. EKIRAGIRO EKIGGYA


Ekidd:
:Ekiragiro ekiggya kye mbalekera kye ekyo
Mwagalanenga, mwagalanenga. x2
1.Nga Kitange bw‟anjagala nammwe bwe mutyo
Mwenna aboluganda mwagalanenga mwagalanenga.
2.Nga kirungi aboluganda okusula awamu
Aboluganda mwenna.
3.Wonna awaba okwagala awo Omukama abaawo
Aboluganda mwenna
Ekiragiro ekiggya kye mbalekera kye ekyo.
4.Yezu, Ggwe Katonda omu atudde wakati
Aboluganda mwenna.
5.Omwagalwa Katonda omu atukuuma
Awamu mwenna.
6.Nga abalungi beesiimye abo abatya Katonda
Ekiragiro ekiggya kye mbalekera kye ekyo.
7.Lyonna ettima eritwawukanya, lyonna likome
Aboluganda mwenna.
8.Zonna entalo n‟ebyawukanya byonna bigobe
Aboluganda mwenna.
9.Ggwe Omukama Katonda omu atudde wakati
Aboluganda mwenna.
10.Ffenna tusaanye aboluganda okusagambiza
Aboluganda mwenna.
By: Fr. Joseph Namukangula



Uri kuririmba: Indirimbo ya 99 mu Catholic luganda