Indirimbo ya 101 mu CATHOLIC LUGANDA
101. JAGUZA YIMBA
Ekidd: | |
:Jaguza yimba, ayi mwoyo gwange anti Omulokozi wo Yezu y’akukyalidde. Jaguza yimba, ayi mwoyo gwange anti Omulokozi wo Yezu ye mugenyi wo olwaleero. | |
1. | Jangu Yezu nkwaniriza, Jangu owange n‟otuula, Onjagala nnyo Mukama wange Omwoyo gwange ka gubenga ennyumba yo. |
2. | Leero Yezu lw‟otuuse Leero Kristu nsanyuse nnyo Ggwe omuzirakisa Mukama wange, Ozze okubiita omubi nze atagasa. |
3. | Bw‟oba nange nsanyuka nnyo Bw‟obulawo ate ne ndaaga, Omuzigu oli kafulu sitaani Ankwenyakwenya agutwale omwoyo. |
4. | Y‟ani nno oyo atamatidde Y‟ani oyo nno atamututte Ffe abamulidde Mukama waffe, Anaatuyamba atutuuze ntende. |
5. | Jangu nno ggwe eyeetegese, Jangu omutwale tomusubwa. Ng‟omwaniriza mu nnyumba yo ggwe Anaakuyamba, akuwenga eddembe. |
6. | Byonna biibyo mbizza wuwo, Nzenna Yezu nfuuse wuwo, Ggwe atansudde Mukama wange, Leero nkugamba, ka nfubenga mbe wuwo. |
7. | Byonna Yezu bidda wuwo Ye ggwe Kristu nannyini byo, Abatakumanyi olw‟ekisa kyo, nabo Obanoonya, obooleke ekkubo lyo. |
By: Kayongo Ponsiano Biva |