Indirimbo ya 102 mu CATHOLIC LUGANDA
102. KATONDA WANGE OMWAGALWA
1. | Katonda wange omwagalwa: Ggwe essanyu buli wantu; Buli kye nnoonya okindaga, Seetaaganga na kantu Onnyamba nga ngwa mu kabi, Kitange nnaakuweera ki? Laba bwe ndaaga obwavu. |
2. | Bwe nfunye Yezu, twegasse, Olwo nfuuse muganzi Ensi n‟ebyayo mbidduse Bisuula bangi ennganzi Ekkubo lyokka eryandagwa, Yezu, kwe ndinywerera. Era sirimuvaako. |
3. | Yezu ekkubo eddunngamu Annyweza buli bbanga, Ekkula, omubalagavu. Bajjajja gwe baalanga, Ankuuma ndikuteera ki? Ka omwoyo ngudduse awabi Enneema ze mba nnyweza. |
4. | Ayi Yezu omuzirakisa, Nnaasiima ntya by‟oleese? Nkunngaanye Bamalayika Ne Mmange, olwo tuteese. Tube wamu, nga nkwebaza, Nneesambe n‟ebitagasa; Nkukwase omwoyo gwange |
By: W.F. |