Indirimbo ya 105 mu CATHOLIC LUGANDA

105. KRISTU OMUKAMA ALI WANO


1.A.(Abakul.) KRISTU OMUKAMA ALI WANO MU FFE KE KALIGA
Ke Kaliga, ke Kaliga, ke Kaliga ka Katonda (x2)
Omukama wa byonna, Kristu Paska yaffe atambiddwa.
2.B.Omubiri gwa Kristu Omukama ……. Oo, Kristu Paska yaffe
Y‟oyo ddala eyeewaayo atambiddwa ……..
Omusaayi gwa Kristu Omukama ………Oo, Kristu Paska
3.Amiina kya mazima ali wano eyeewaayo
Omukama ke Kaliga ali wano atambiddwa … Oo, Kristu Paska (B) …
KRISTU OMUKAMA ALI WANO MU FFE KE KALIGA ……..
4.Ababatize be baabo Omulokozi b‟aliisa,
Be yalonda basse kimu mu Kristu atusembezza … Oo, Kristu (B) ……
KRISTU OMUKAMA ALI WANO MU FFE KE KALIGA (A)
5.Ennyama ye abagirya Omukama abeera mu bo, Omusaayi gwe
Abagunywa okufa kwe bakukuza nnyo …. Oo, Kristu (B)
KRISTU OMUKAMA ALI WANO MU FFE KE KALIGA (A) …….
6.WUUNO KRISTU AKALIGA WUUNO…….WUUNO ALINZE KRISTU AKALIGA ALINZE……….ALINZE
7.SEMBERA OFUNE OMUBIRI GWA KRISTU NG‟OLYA AKALIGA
SEMBERA OFUNE OMUGABO GWA KRISTU NG‟OLYA AKALIGA
8.TUMWEBAZE LUGABA, TUMWEBAZE DDUNDA, UKARISTIA ENO
ETUFUULA ABAZIRA, UKARISTIA ENO NGA TULAMAGA KU NSI.
9.Atwewa Kristu Akaliga atwewa ………….ATWEWA
Tumwewe Kristu Akaliga tumwewe ……TUMWEWE
10.SEMBERA OFUNE OMUBIRI GWA KRISTU NG‟OLYA AKALIGA……(C)
11.Tweyanze Kristu Akaliga atwewa ….. TWEYANZE.
Mulungi Kristu Akaliga atwewa ……..MULUNGI.
12.SEMBERA OFUNE OMUBIRI GWA KRISTU NG”OLYA AKALIGA (c)
By: Fr. Vincent Bakkabulindi



Uri kuririmba: Indirimbo ya 105 mu Catholic luganda