Indirimbo ya 106 mu CATHOLIC LUGANDA
106. KRISTU UKARISTIA YAFFE
Ekidd: | |
: Kristu Ukaristia yaffe, Bwe bulokofu era n’obuzira Ge maanyi gaffe n’obulamu Obw’olubeerera. | |
1. | Ukaristia bwe bulamu Abajulizi mwe baggya obuzira. Ne balwanyisa sitaani n‟ebibi ne babigoba. |
2. | Ukaristia bwe bulamu ge maanyi era n‟obuzira Ye nsulo y‟okulokoka ffenna kwe twettanira. |
3. | Ukaristia bwe bulamu obuwanirira ffe abalamazi Ne tutambuza maanyi bulijjo mu kukkiriza. |
4. | Ukaristia bwe bulamu obwa Trinita Katonda Gwe musingo ogw‟okuzuukira okulijja. |
By: Fr. Expedito Magembe |