Indirimbo ya 111 mu CATHOLIC LUGANDA
111. 111. MUJJE TUGENDE EW’OMUSUMBA
Ekidd: | |
: Mujje tugende ew’Omusumba, Musumba omulungi, Yezu y’atuyita, Tugende ew’Omusumba, Omukama Yezu y’atuyise. | |
1. | 1. Omukama atuyita okugenda, ggwe wulira Omukama agamba: “Mujje, mujje gye ndi mmwe obuliga, Mbawummuze era mbayambeko, Mujje , mujje gye ndi, nze Musumba abaagala.” Mujje …………….. Nze Musumba Mujje …………….. Nze Musumba owammwe abaagala Mujje …………….. Nze Musumba omulungi atabasudde. |
2. | 2. Mujje eno nze mulyango ……………….. Nze mulyango Mujje eno nze mulyango …………………Nze mulyango ogw‟endiga mwe ziyita, nze mulyango. Atayita mu nze nga munyazi, ……. N‟endiga zimugaana, ………………. Nze mulyango ogw‟obulamu, ………. Nze mulyango ogw‟obulokofu …….. Mujje …………….. Nze Musumba Mujje …………….. Nze Musumba owammwe abaagala Mujje …………….. Nze Musumba omulungi atabasudde. |
3. | 3. Mujje eno nze Musumba Nze Musumba Mujje eno nze Musumba Nze Musumba omulungi abaagala, Nze musumba. Nze Musumba atalundira mpeera, …………… Mpaayo n‟obulamu okubeera zo, ……………. Ezange nzimanyi nazo zimmanyi, …………… Nziyita nazo ne zingoberera, ………………….. Nze Musumba omulungi ………………………… Mpaayo n‟obulamu okubeera zo ………………. Nga Kitange bw‟ammanyi bwe mbamanyi……. N‟okubaagala bwe ntyo …………………. Mujje …………………… Nze Musumba Mujje …………………… Nze Musumba owammwe abaagala Mujje …………………….Nze Musumba omulungi atabasudde |
By: Fr. Expedito Magembe |