Indirimbo ya 112 mu CATHOLIC LUGANDA
112. 112. NDISIIMISA KI NZE OMUKAMA
Ekidd: | |
: Ndisiimisa ki nze Omukama Olw’ebirungi by’ampadde atyo nze, Ndisiimisa ki nze Omukama, ambedde! | |
1. | 1. Nnalimu okwesiga ne bwe nnagamba nti: Nze nga ndabye nnyo! |
2. | 2. Nze nnatya ne nngamba nti: Buli muntu mulimba bulala. (Ekidd.) |
3. | 3. Nnaddiza ki Omukama Olwa byonna bye yampa |
4. | 4. Nja kuddira ekikompe ky‟obulokofu Nkoowoole erinnya ly‟Omukama. |
5. | 5. Bye nneetemye ew‟Omukama nja kubituusa Ng‟eggwanga lye lyonna liri awo. |
6. | 6. Kwa muwendo mu maaso g‟Omukama Okufa kw‟Abatuukirivu be. |
7. | 7. Ayi Mukama, Nze ndi muweereza wo Nze ndi muweereza wo, mwana wa muzaana wo, Ggwe wasumulula envunba zange. |
8. | 8. Nja kukutambirira Ekitambiro ky‟okukutenda Nkoowoole erinnya ly‟Omukama |
By: Fr. James Kabuye |