Indirimbo ya 113 mu CATHOLIC LUGANDA

113. NJAGALA KATONDA


1.1. Njagala Katonda ow‟amaanyi asinga
Katonda Mwana gwe nzirinngana ojja ddi?
Ekidd.: Jangu Yezu gwe njagala, eyannganza
2.2. Nze buli olukedde nnaajaguza wamma,
Mukama wange n‟obuyinza bwo ntya ki?
3.3. Ggwe Katonda lw‟ozze nnaajaguza wamma,
Onfuula mwana mw‟ojaguliza lw‟ozze.
4.4. Mu bunaku bw‟ensi sijja kutya onnyamba,
Katonda w‟oli nnaabakinako abazigu.
5.5. Mu buli ekibaawo tonsuula onnyamba,
Ompadde bingi n‟ondabirira ekitalo.
6.6. Mugabi Katonda nnaakwebaza osaana
Ompadde bingi n‟oyitiriza wamma.
7.7. Mu ggulu ne mu nsi nja kwebaza by‟ompa
Oyamba abaavu n‟olabirira abatene.
8.8. Nze ddala nkuwe ki n‟omubiri gwo andiisa?
Nze omuntu omwavu nnaakuwa kaki lw‟ozze?
9.9. Njagala mbeerenga mu Nnyumba yo nga sigivaamu ndi wuwo
Nga ndi muzaana ewa Ddunda anzaala.
10.10. Njagala mbeerenga mu Nnyumba yo nga sigivaamu ndi wuwo
Nga nsinza Taata eyannganza wamma.
11.11. Njagala mbeere mu Nnyumba yo nga sigivaamu ndi wuwo
Walondawo nze n‟osiima mbe wuwo.
12.12. Njagala mbeere mu Nnyumba yo nga sigivaamu ndi wuwo
Nga ntenda bw‟oli ow‟ettendo ombedde.
13.13. Njagala nnyimbenga, njagala ntendenga, njagala mbeerenga,
Njagala mbeerenga, njagala, njagala, njagala mbeere,
Mu Nnyumba y‟Omukama emirembe.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 113 mu Catholic luganda