Indirimbo ya 114 mu CATHOLIC LUGANDA

114. NJAGALA NZE


1.1. Njagala nze, njagala kimu nze:
Okubeera mu Nnyumba y‟Omukama emirembe, emirembe, emirembe,
Mpulire obuwoomi bw‟Omukama, nnerolere, nnerolere Ekiggwa kyo,
Mu Weema yo entukuvu ……….. nnerolere, nnerolere Ekiggwa kyo ………
Mu Weema yo ……….
Mu Weema yo entukuvu, nkutambirire Ebitambiro eby‟okujaguza
N‟entongooli ekuvugire Mukama wange ………… Nja kuyimba.
Nja kuyimba obutamala ……. Nja kuyimba:
Nja kuyimba, nja kuyimba, nja kuyimba Ggwe Mukama wange.
Omutima gwange gukugamba, amaaso gange gakunoonya,
Ayi Mukama nnoonya amaaso go, tonkweka maaso go,
Nze omuddu wo, tongobaganya, tonjabulira.
2.2. Ababi bwe bannumba abalabe bange ababi bwe bannumba okunzita ……
Bawanattuka ne bagwa, bawanattuka ne bagwa,
Eggye bwe linnumba okunzita, eggye bwe linnumba okunzita …..
Bawanattuka ne bagwa, bawanattuka ne bagwa,
Ggwe Obulokofu bwange ayi Mukama,
Ggwe kigo ekinywevu eky‟obulamu bwange, nnaatya ki?
Nnaatya ki? Nnaatya ki? Ani ate gwe nnaatya?
(Ne bwe njabulirwa) …. Ne bwe njabulirwa Taata ne Maama,
(Kasita) ….. Kasita Omukama antutte tanjabulira, ampanguza.
Tonjabulira ayi Mukama, tonsuula ayi Mukama, nnindirira
Omukama alijja,
Nzikiriza ate nga ndiraba ebirungi by‟Omukama mu nsi y‟abalamu.
By: Fr. James Kabuye



Uri kuririmba: Indirimbo ya 114 mu Catholic luganda