Indirimbo ya 115 mu CATHOLIC LUGANDA
115. NKUSINZA KABAKA
1. | 1. Nkusinza Kabaka, Yezu omuganzi ennyo Twegatte kaakati Bannaggulu nange. Nnemeddwa, Yezu, okwebaza Kyokka, siima ettendo lino Nzize w‟oli, Yezu Nzize Ggwe azze gye ndi. |
2. | 2. Okyadde, Ggwe owange, nneeyanza ky‟okoze, Nnina essanyu lingi, olw‟okuba otuuse Olw‟ebirungi by‟okola Ng‟oyamba ffe nno abajeema, Leero nkwewuunya nze, Kuba oyamba abaavu. |
3. | 3. Nzenna nkwewa, Yezu anti bwe ndi, bwe ndi! Nsobi zange nkumu, nnyamba, nfune amaanyi Ntwala n‟ebyange biibino, Nsenza, Yezu nzuuno leero; Nnyamba, mbe nze mu abo Abaddu bo enkwata! |
4. | 4. Ye Ggwe Mannu ey‟edda, weewa abatambula! Tunyweze ku nsi eno, ffenna abajja gy‟oli Entanda y‟abo abeesiga. Obuyinza bwo ennaku zonna Ye Ggwe, Yezu Ssebo Ye Ggwe aliisa abangi. |
By: M.H. |