Indirimbo ya 116 mu CATHOLIC LUGANDA
116. NKULAMUSA NNYO YEZU
1. | 1. Nkulamusa nnyo, Yezu anneewadde Anti Ggwe ntanda, mwe tuggya amaanyi Yamba era nyweza emyoyo egyaffe, Ffe tukwewa ffenna n‟essanyu lingi. |
2. | 2. Ggwe ow‟ekisa ennyo, Yezu, nsaasira, Nzuuno w‟oli Ggwe atuuse gye ndi Liisa era nywesa omwoyo kaakati, Ndyoke, Yezu, nnwane n‟amaanyi amaggya. |
3. | 3. Ayi Omusumba wa buli muntu Beeranga mu nze, twegatte naawe Nze ntwala gy‟oli, mbe naawe Yezu Ng‟ebyensi biwedde, ndye embaga eteggwa. |
By: Fr. James Kabuye |