Indirimbo ya 118 mu CATHOLIC LUGANDA
118. NAAKWEBAZA NTYA MUKAMA
1. | WANGE (Fr. James Kabuye) Ekidd. I: Naakwebaza ntya……………… Mukama wange x3 Naakwebaza ntya Ggwe ankuuma n’ondabirira ………. Ojjuza ebirungi abakwagala ……………. Abakwagala Abakuweereza obakuuma ……………….. Obakuuma. //Naabula ki nze, nga ndi naawe ……… Nga ndi naawe Naabula ki nze, ng’ompanirira ………. Ng’ompanirira// |
2. | 1. Nga Kitaawe w‟abaana bw‟abaagala, n‟Omukama bw‟atyo bw‟asaasira abamutya. Ekidd. II: Atumanyi nga bwe twakolebwa ajjukira nga tuli nfuufu. |
3. | 2. Nga Kitaawe w‟abaana bw‟abaagala, n‟Omukama bw‟atyo bw‟atwagala abamutya. Ekidd. II: Atumanyi nga bwe twakolebwa, ajjukira ffenna kinnoomu. |
4. | 3. Ng‟oli wa kisa nnyo Ggwe Katonda wange nnaajaguza Ddunda nga nkwebaza by‟ompa. Ekidd. II: Bye wakola nga bisukkirivu, nze ssibala byonna Ggwe by’ompa. |
5. | 4. Wankulembera Ddunda n‟onnambika, wangabira amaanyi nnawangula ebizibu. Ekidd. II: Bwe nnayita Ddunda wampulira, ng’ojjukira nti tuli nfuufu. |
6. | 5. Nzuuno kye nsaba Ddunda okuva kati, n‟obwesige nkwewa onnambike mbe wuwo. Ekidd. II: Ggwe atumanyi nga bwe twakolebwa, Ggwe wotoli tewaba ddembe. |
By: |