Indirimbo ya 119 mu CATHOLIC LUGANDA
119. NNGAMBE NTYA
Ekidd: | |
: Nngambe ntya, Katonda wange, ozze otya Kiwamirembe otuuse Ozze otya Katonda wange ozze otya Kiwamirembe otuuse. | |
1. | 1. Ovudde mu ggulu n‟ojja Katonda wange, N‟ontunuulira n‟ojja okundaba Okundaba nze bwe nkaba, omunkuseere N‟onzikiriza n‟ojja okundaba. |
2. | 2. Olw‟ekisa nze kye ntenda, Katonda wange Walese eggulu n‟ojja onkyalire Omwoyo gwange gw‟onoonya okubeeramu Gwakujeemera dda nnyo, onsaasire. |
3. | 3. Ka nkwebaze ku lwaleero okundaba Toyabulira n‟omu akwesiga: Ab’eggulu n‟ab’oku nsi ka twejage, N‟oluyimba olw‟eggwoowo, tumwebaze. |
4. | 4. Ggwe Nnannyini ggulu n‟ensi mutalabwa Kye nkusuubiza sijja kukugoba, Omwoyo gwange olwaleero gugwo ddala Tonzikiriza n‟onta okukuleka. |
By: Fr. James Kabuye |