Indirimbo ya 124 mu CATHOLIC LUGANDA
124. NZUUNO NKONKONA
Ekidd: | |
: Nzuuno ku mulyango nkonkona Awulira eddoboozi lyange n’aggulawo ndiyingira ewuwe. Nzuuno ku mulyango nkonkona Awulira eddoboozi lyange n’aggulawo ndiyingira ewuwe Ne ndya ekyekiro nga tutudde wamu, Ne ndya ebyassava nga tuli ffembi, tutudde wamu. | |
1. | 1. Mpulira ayogera nga Mukama wange, nsanyuse na nnyo Yezu lw‟ogobye Mpulira ayogera nga Ggwe Mukama wange, Yingira jangu Mukama wange, yingira jangu nze akwagala, Yingira jangu Mukama wange, yingira tuula, tubeere wamu. |
2. | 2. Mukama nkumanyi nga bw‟oli ow‟ekitiibwa, nsanyuse na nnyo okuntunuulira, Weebale okujja gye ndi Mukama wange, Yingira jangu Mukama wange, yingira jangu nze nkwagala Yingira jangu Mukama wange, yingira tuula tubeere wamu. |
3. | 3. Mpulira annamusa nga Mukama wange, nsanyuse na nnyoYezu ankyalidde, Weebale okujja gye ndi Mukama wange, Yingira jangu Mukama wange, yingira jangu nze nkwagala Yingira jangu Mukama wange, yingira tuula tubeere wamu. |
4. | 4. Mukama nsonyiwa anti nnasobya bingi, nneebaza lw‟ozze anti osaasira, Mukama ndayira nange okunywera ku Ggwe, Yingira jangu Mukama wange, yingira jangu nze nkwagala Yingira jangu Mukama wange, yingira tuula tubeere wamu. |
By: Fr. James Kabuye |