Indirimbo ya 125 mu CATHOLIC LUGANDA
125. OBWAKABAKA OBW’OMU GGULU
1. | (Fr. Expedito Magembe) Obwakabaka obw‟omu ggulu, bufaanana nga ssemaka eyafumba embaga ye, N‟atuma abantu, bajje ku mbaga gy‟ategese. x3 Jangu jangu, omwagalwa jangu, Mukama wo akuyita akwagala, Jangu Omwagalwa jangu, Mukama wo akufumbidde ekijjulo. |
2. | 1. Aaa, nngaanyi, nnina ekizibu, nnina okugezesa ente zange ezo ezirima Mukama wange anansonyiwa, mugambe nti: Ssisobodde. |
3. | 2. Aaa, nngaanyi, nnaguze ekyalo, nnina okulambula ekyalo kyange ekyo kye nguze. Mukama wange anansonyiwa, mugambe nti: Ssisobodde. |
4. | 3. Aaa, nedda sijja kusobola, nnina omugole gwe nnyingizza olwaleero, Mukama wange anansonyiwa, mugambe nti: Ssisobodde. Ssemaka n‟akalala, n‟akalala n‟alagira nti “Genda mangu, genda mu nguudo eyo, oleete bonna, bonna, bonna b‟osanga, Abaavu n‟abalema, abanaku ne bamuzibe, x2 Bonna, bonna, bonna, obagabule, ebirungi bye ntegese. x2 Naye bali, naye bali – mpaawo alikomba ku mbaga yange (abo), Mpaawo alikomba ku mbaga yange, mpaawo alikomba ku mbaga yange. x2 Obwakabaka obw‟omu ggulu Bwe buliba bwe butyo Mu bwakabaka Bwe buliba bwe butyo Abeebalankanya bonna Bwe baliba bwe batyo Mu bwakabaka Bwe baliba bwe batyo Katonda wo akwagala nnyo, akuyita ku mbaga gy‟ategese – eyo mu ggulu Obwakabaka obw‟olubeerera gy‟ali, ye mbaga gy‟akuyitira ,, Obwakabaka obw‟olubeerera gy‟ali, kye kitiibwa ky‟akuyitira ,, Okubeera ne Mukama wo Yezu, lye ssanyu ly‟akuyitira ,, Okubeera n‟abalondemu abayite, kye kitiibwa ky‟akuyitira. ,, Batismu gituukirize – gituukirize – gwe wasenga tomwegaana Kye weetema kituukirize – Kituukirize – gwe wasenga tomwegaana Katonda wo muyinza nnyo – Nnantalemwa – okusamira okwo kwerabire Amasanyu amabi galeke – nago galeke – sitaani takusiikiriza Katonda wo mugagga nnyo – mugagga nnyo – ssente tekusuula wabi. Embaga y‟Omukama ng‟ekusuba, empeera y‟abalungi ng‟ekusuba Ddala ekusuba nnyo Eggulu gye tugenda ng‟olisubwa, empeera y‟abalungi ng‟ekusuba ,, Ebirungi by‟Omukama ng‟obisubwa, Katonda w‟abalungi ng‟akusuba ,, Nyiikira olwane masajja toddirira – Nyiikira olwane masajja toddirira. ,, |
By: |