Indirimbo ya 126 mu CATHOLIC LUGANDA
126. OMUGAATI GWA BAMALAYIKA
1. | (Fr. Vincent Bakkabulindi) Ekidd.: Omugaati gwa Bamalayika guugwo Omugaati gwa Bamalayika guugwo Ogwava mu ggulu, gwegwo, Atagwagala ani? R/ Osaana okimanye nti Kabaka wo Yezu ali wano akulinda! |
2. | 1. Twejjukize ku bigambo bya Yezu Bye yakuutira Abatume be n‟Abayigirizwa be, Nti Omubiri gwange, kyakulya ddala N‟Omusaayi gwange, kyakunywa ddala. |
3. | 2. Katonda y‟atuwa amaanyi era ffe y‟atunyweza Tuleme kugwa mu mitego! Tujjumbire okufuna naffe ku Mugaati Mu Ukaristia mw‟atwegabulira. |
4. | 3. Twekkaanye obuyinza bwa Yezu Eyatuula ku mmeeza n‟agabula bulungi: Abasigire n‟akkiriza okumuyitanga, Baddamu bulijjo mu Kitambiro! |
5. | 4. Emyoyo gya kitiibwa egyo egifuna Katonda Y‟agiyamba ne mu lutalo! Mugaati gwa muwendo guno twesige Katonda Mu Ukaristia mw‟atwegabulira. |
6. | 5. Omukama ye mubeezi w‟abanaku Eyafiirira ensi eno n‟agiwonya na bingi Mu Mugaati gwaffe ye Mulokozi Omuyambi waffe, atuwa engabo. |
7. | 6. Abantu tweyune obulamu Yezu y‟abuleeta Omulabe talitumenya! Eddembe lya kunoonya awo W‟olaba Katonda, mirembe na nnaku talitubulako. |
By: |