Indirimbo ya 127 mu CATHOLIC LUGANDA
127. OMUGAATI GW’OBULAMU
1. | (Fr. Joseph Namukangula) Ekidd.: Omugaati gw’obulamu ogwava mu ggulu Guugwo, wuuno Ye Yezu Guugwo, wuuno Ye Yezu Ogw’abatambuze Ye Nnyini-bulamu (Bonna): Yezu afuuse entanda. |
2. | 1. Tweyanzizza, Ssebo omulungi Yezu okutwewa Oyambye! Tweyanzizza Oyambye! Tweyanzizza, Ssebo, okutwewa Ggwe. |
3. | 2. Twesiimye nnyo, Ssebo Ggwe owaffe Ssebo okutwewa Ng‟ojja eno Twesiimye nnyo, Ewaffe Twesiimye nnyo, Ssebo okuba naawe. |
4. | 3. Mmwe abayala, nammwe abayonta nammwe abagonvu Mujje eyo Ewa Nnyini-bulamu Ye Yezu Abakkuse nnyo nnyini abawe amaanyi. |
5. | 4. Tukwesiga nnyo, Ssebo tutwale Ssebo otutuse Eka eyo Gy‟obeera Mu kitiibwa Tukwesiga nnyo Ssebo tutuuse eyo! |
6. | 5. Ewa Kitaawo, Ssebo, tutwale, Ssebo otutuuse Twesiime N‟abamutenda Mu Kitiibwa Bannaggulu, naffe nno tube mu abo. |
By: |