Indirimbo ya 128 mu CATHOLIC LUGANDA
128. OMUKAMA ANNUNDA
Ekidd: | |
: Omukama annunda, mpawo kye njula: Y’antwala mu malundiro amalungi, ne ngalamira. 1. Yantwala eri amazzi gye mba mpummulira nze, Omwoyo gwange yaguzzaamu endasi. | |
1. | 2. Yampisa mu bukubo obulongofu, Olw‟okubeera erinnya lye eryo. |
2. | 3. Ne bwe nnaatambulira mu kiwonvu ekikutte enzikiza Sitya kabenje, kuba Ggwe oli nange. |
3. | 4. Wantegekera olujjuliro nze, Ng‟abalabe bange batunula. |
4. | 5. Omutwe gwange ogusiiga omuzigo; Ekikompe kyange ne kibooga. |
5. | 6. Ekisa n‟omukwano gwo bingoberere Ennaku zonna ez‟obulamu bwange. |
6. | 7. Nneegomba okusula mu Nju y‟Omukama, Emirembe n‟ennaku. |
By: Fr. James Kabuye |