Indirimbo ya 129 mu CATHOLIC LUGANDA
129. OMUKWANO GW’OMUKAMA
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Omukwano gw’Omukama ndiguyimba Omukwano gw’Omukama ndigutenda Omukwano gw’Omukama ndiguyimba emirembe gyonna. |
2. | 1. Ggwe wanngamba nti Omukwano gwa lubeerera, N‟obwesige bwo mu Ggulu eyo bwa mirembe gyonna. |
3. | 2. “Endagaano gye nkubye ya mirembe na mirembe”, Omukama yalayira ya mirembe gyonna. |
4. | 3. Nga asuubiza Daudi omuddu we amugamba, Nti omukwano gwa mirembe gyonna. |
5. | 4. “Nja kunyweza ezzadde lyo emirembe”, Bwe yalayira emirembe gyonna. |
6. | 5. Talituggyako omukwano gwe atugamba, Nti: Omukwano gwa mirembe gyonna. |
7. | 6. Omukama talikyusa kye yalayira atugamba, Nti: Omukwano gwa mirembe gyonna. |
8. | 7. “Sirimuggyako mukono gwange, amazima Sirijjulula kyonna ekyo kye nneetema. |
9. | 8. Agulumizibwe Omukama emirembe gyonna Bwe kiba kiba, kibe kityo, kibe kityo! |
By: |