Indirimbo ya 133 mu CATHOLIC LUGANDA
133. OZZE OMWANGE
1. | 1. Ozze omwange Nneeyanzizza Onkyalidde Nneeyanzizza Nga nneesiimye Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
2. | 2. Onneewadde Nneeyanzizza Wenna Yezu Nneeyanzizza Nga nneesiimye Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
3. | 3. Ondeetedde Nneeyanzizza Enneema ezo Nneeyanzizza Ze nneetaaga Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
4. | 4. Byonna ebirungi Nneeyanzizza Obimpadde Nneeyanzizza Nga nneesiimye Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
5. | 5. Bamalayika abo Nneeyanzizza Bonna mbasinga Nneeyanzizza Nga nneesiimye Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
6. | 6. Omwoyo gwange Nneeyanzizza Kati nnyumba yo Nneeyanzizza Oh! Toguvaamu Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
7. | 7. Obulamu bwange Nneeyanzizza Mbukuwadde Nneeyanzizza Njagala nkufaanane Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
8. | 8. Ompe amaanyi Nneeyanzizza Nnwanyise sitaani Nneeyanzizza Omulabe waffe Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
9. | 9. Nkusaba Yezu Nneeyanzizza Mu bwokufa Nneeyanzizza Nfe bulungi Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
10. | 10. Nkutuukeko eyo Nneeyanzizza Ewa Kitaawo Nneeyanzizza Nneesiime Naawe Nneeyanzizza, nneeyanzege, Yezu onkyalidde. |
By: Tereza Kalenzi |