Indirimbo ya 135 mu CATHOLIC LUGANDA

135. TE DEUM, GGWE KATONDA


1.TUKUGULUMIZA (Fr. James Kabuye)
Ekidd.: Ggwe Katonda
Tukugulumiza
Ggwe Mukama
Tukutendereza.
2.1. Ggwe Katonda tukugulumiza
Ggwe Omukama tukutendereza,
Ggwe Patri ataliiko kusooka
Ensi yonna ekutendereza.
3.2. Ggwe gwe batendereza Bamalayika bonna
N‟eggulu n‟amaanyi gonna we gafa genkana
Ne Bakerubimu ne Basserafimu
Bakoowoola obutassa nga bakuyimbira.
4.3. Mutuukirivu Mutuukirivu,
Omukama Katonda ow‟obuyinza
Bijjudde ensi n‟eggulu
Obukulu bw‟ekitiibwa kye ekyo.
5.4. Ekibinja ky‟abatume eky‟ekitiibwa
N‟abalanzi ab‟ettendo bakutendereza,
Eggye ly‟abajulizi eritemagana ennyo
Likutendereza.
6.5. Mu nkulungo y‟ensi yonna w‟efa ekoma,
Eklezia Omutukuvu
Ggwe Patri ow‟obukulu obutagereka,
Akutendereza.
7.6. Wamu n‟Omwana wo omutiibwa,
Ggwe wazaala yekka oyo
Wamu ne Mwoyo Mutuukirivu Omukubagiza
Akutendereza.
8.7. Ggwe Yezu Kristu Kabaka ow‟ekitiibwa
Oli mwana wa Patri ataliiko kusooka,
Bwe wateesa okulokola omuntu wagaana
Okwenyinyala enda y‟Omubiikira…………
9.8. Ggwe wawangula olumbe,
N‟oggulirawo abakukkiriza obwakabaka bw‟eggulu.
Ggwe atudde ku gwa ddyo ogwa Katonda mu kitiibwa kya Kitaawo oyo,
Ffenna tukkiriza ng‟olijja okutulamula.
10.9. Tukwegayiridde nno abaddu bo bajune,
Be wanunuza Omusaayi gwo nno ogw‟omuwendo,
Bawe okumenyerwa mu Batuukirivu,
Mu kitiibwa ekitaliggwaawo.
11.10. Ayi Mukama abantu bo balokole,
Ezzadde lyo liwe Omukisa,
Balunngamye, badduukirire,
Okutuusa ensi lw‟eriggwaawo.
12.11. Buli kanaku tunaakutenderezanga,
Ne tugulumiza erinnya lyo ennaku zonna,
Emirembe ne mirembe ,
Kkiriza ayi Mukama olunaku lwa leero
Okutukuuma nga situkoze kibi
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 135 mu Catholic luganda