Indirimbo ya 136 mu CATHOLIC LUGANDA

136. TE DEUM, GGWE KATONDA


1.TUKUGULUMIZA (Fr. James Kabuye)
1. Ggwe Katonda tukugulumiza,
Tukubbiramu Ggwe Mukama waffe,
Kitaffe ow‟emirembe gyonna,
Ensi yonna evunname ekusinze.
Ekidd:
I: Tukugulumiza tukutenda Ggwe Katonda
Tukugulumiza tukutenda Ggwe Kagingo
Ffe tukwagala nnyo Ddunda Omutonzi.
2.2. Bamalayika bakutende,
Bannaggulu bonna bakwebaza,
Bakerubini Basserafini,
Bakugulumize nga bayimba.
Ekidd.II.: Mutuukirivu, Mutuukirivu nnyo (Bass: Hosanna)
Mutuukirivu, Mutuukirivu nnyo (Omukama Katonda
w’amagye).
Ekitiibwa kyo kijjudde eggulu n’ensi
Osaanira kutendwa. (Osaanira kutendwa).
3.3. Ennyiriri z‟abatume ez‟ekitiibwa
Ekibinja ky‟abalanzi eky‟ettendo,
Bakugulumize nga bayimba. (Ekidd. II)
4.4. Eggye eryeru ery‟abajulizi abaafa
Olwa Kristu abaayiwa omusaayi,
Bakugulumize obutakoma; (Ekidd. II)
5.5. Okuva ddala ne ku nsi eyo gy‟ekoma
Eklezia Omutukuvu akwatule,
Akugulumize obutakoma; (Ekidd. II)
6.6. Ggwe Kitaffe ow‟ekitiibwa ekitagooka,
Omwana wo omu yekka tumusinze,
Ne Mwoyo Mutukuvu atuwolereze. (Ekidd. II)
7.7. Ggwe Kristu Kabaka omutiibwa,
Omwana wa Kitaffe ow‟emirembe,
Bwe wafuuka omuntu olw‟okutulokola,
Tewenyinyala enda y‟omubiikira. (Ekidd.I)
8.8. Ggwe eyawangula olumbe luli,
Obwakabaka bwa Kitaffe n‟obuggulawo
Eri abo bonna abakukkiriza,
Tugulumize nga tukwebaza. (Ekidd.I)
9.9. Ggwe atudde ku ddyo ogwa Kitaffe,
Mu kitiibwa eky‟emirembe gyonna,
Olidda edda okutulamula,
Kye wasuubiza kirituuka. (Ekidd.I)
10.10. Ggwe eyalokola abantu bo,
Mu musaayi gwo ogw‟omuwendo,
Komawo Yezu ffe tuwanjaga,
Komawo Yezu Ggwe Omulokozi. (Ekidd.I)
11.11. Tutuuze mu Batuukirivu eyo
Mu kitiibwa kyo ekitakoma,
Tuwe ekifo eyo kye wasuubiza,
Mu nnyumba amakula eya Kitaffe. (Ekidd.I)
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 136 mu Catholic luganda