Indirimbo ya 137 mu CATHOLIC LUGANDA
137. TUJAGUZE
1. | 1. Tujaguze tukube olube, Tuyimbe ffenna n‟essanyu: Yezu azze wano ewaffe! x2 Tumutende ffenna wamu. |
2. | 2. Ebigambo bya Konsekrasio Bimuleese mu Ostia; Eyafiira ku Kalvario x2 Ali ne wano mu Missa. |
3. | 3. Yezu wange, Tabernakulo Ye nsiisira yo mw‟obeera; Emisana era n’ekiro x2 Ng‟omaze okwetambira. |
By: W.F. |