Indirimbo ya 138 mu CATHOLIC LUGANDA
138. TUKWEBAZA PATRI
Ekidd: | |
: Tukwebaza Patri, olw’Omwana wo Yezu, Gw’otuwadde Ssebo, Tweyanze Kitaffe. | |
1. | 1. Twewuunya bw‟oganza, ffe abantu abaajeema Ffenna otuliisa anti, n‟oyo Omwana wo Yezu. |
2. | 2. Tweyanze nnyo Yezu, y‟oyo emmere yaffe Etukkusa nnyini, n‟ewa obulamu obuggya. |
3. | 3. Yiino embaga entuufu, ey‟abaana abasa, Otuddiza Ssebo, ku ebyo ebitone ebyaffe. |
4. | 4. Ssebo by‟otugambye, mu Yezu Omwana wo, Tujja kubyoleka, ne mu mayisa gaffe. |
5. | 5. Patri tukwebaza, wamu n‟Omwana wo, Mwoyo Mutukuvu, Naawe mwenkanya ettendo. |
By: Fr. James Kabuye |