Indirimbo ya 139 mu CATHOLIC LUGANDA

139. TUKWEWUUNYIZZA, YEZU


1.(Fr. Vincent Bakkabulindi)
1. Tukwewuunyizza, Yezu ……………Yezu ………
Ggwe Mukama, Ggwe Mulokozi,
Ggwe Katonda! Kristu ye Mulokozi gwe tumanyi!
2.2. Otuzzizzaamu amaanyi
3.3. Tukukkiririzaamu, Yezu
4.4. Omulokozi oli wa kisa
5.5. Omulokozi, otutukuzza
6.6. Otubbudde, otunyirizza
a) Tukwewuunyizza, Yezu, tukwesiga
Yezu otumatizza Yezu otumatizza, Yezu tukwesiga: wa maanyi!
7.b) Oli mumegganyi ow‟entiisa ow‟amaanyi, Yezu oli muzira
Yezu oli muzira, Yezu tukwesiga ……….
8.c) Naffe abagoberezi b‟Omukama twekembye, Kristu atuwagira
Kristu atuwagira, Yezu tumwesiga ………
9.d) Tufuuse bazira olw‟Omukama eyazuukira, Yezu atuwanguza
Yezu atuwanguza, Yezu tumwesiga ……..
10.e) Onakuwala ki ng‟Omukama eyakwagala akuyita okuzuukira!
Akuyita okuzuukira, Yezu tumwesiga ……..
11.f) Anoowangula atya sitaani ng’oli ne Yezu awo ku lusegere?
Awo ku lusegere, Yezu tumwesiga ………..
12.g) Tulifuna tutya empeera nga titulwana wabula okugayaala?
Wabula okugayaala, Yezu tumwesiga ………..
13.h) Tetukyadda mabega nga tuyita n‟Omwana; Yezu awulira atya?
Yezu awulira atya, Yezu tukwesiga ……..
14.i) Tukwewaaniramu, Yezu olwa Batismu, Mukama, tuli babo
Mukama tuli babo, Yezu tukwesiga ……..
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 139 mu Catholic luganda