Indirimbo ya 141 mu CATHOLIC LUGANDA
141. TWANIRIZE OMUGENYI WAFFE
1. | (Fr. Joseph Namukangula) Ekidd.: Twanirize omugenyi waffe Y’ono omutiibwa Yezu y’atukyalidde Y’ono omulungi Yezu y’atukyalidde leero Y’ono omutiibwa Leerooooo Y’ono omutiibwa Bonna: Yezu Kabaka, azze eno! |
2. | 1. Tulabira wa, Yezu Ggwe omulungi Tulaba ku ki, Yezu Ggwe omuteefu, ozze eno olwaleero Nnamugereka owaffe, Ggwe otusenze Nnyini-bulamu Yezu Ggwe omuyinza ozze eno! |
3. | 2. N‟ebirungi byo Yezu obireese N‟ogabirako abaana be waganza oyambye n‟otuliisa, Olw‟obulungi bwo tota na kutwewa N‟otujjuza enneema ezo amatendo; Ggwe owaffe. |
4. | 3. Otugabula Yezu ng‟otuliisa N‟otukkusa Mannu amatendo, ng‟otwewa n‟otuliisa, Ffe bwe tugirya tufuna amaanyi Ne tutambula naawe ng‟otutwala ewaffe! |
5. | 4. Ku kikolo kyo anti kwe tusimbye, Ffe tunywerera ku Ggwe ng‟otuliisa, ng‟otwewa n‟otunyweza Mu mukwano gwo omwo Ssebo tunyweze; Ebiragiro naffe tubinyweze; lye kkubo. |
6. | 5. Tusaba kimu, Yezu Ggwe omulungi Tukutuukeko eka eyo mu kitiibwa, ewaffe gy‟obeera Mu lubiri lwo, Yezu tukutende Mu kitiibwa kyo naffe eyo tutuuse, twesiime. |
By: |