Indirimbo ya 142 mu CATHOLIC LUGANDA

142. WANJAGALA NNYO


1.MUKAMA WANGE (Kayongo Ponsiano Biva)
Ekidd.: Wanjagala nnyo Mukama wange,
Wambiita Lugaba
Nze atalina bwe ndi mu maaso go,
N’okkiriza mbe omwana.
2.1. Nze ani gwe walonda, nze ani gwe waganza?
Nze ani gwe wabiita, nze omwonoonyi bwe nti, Lugaba.
3.2. Ddunda ekisa kyo, kingi nze nkitenda.
Anti Ggwe wasiima, okunfuula omwana Lugaba.
4.3. Bye nkola nze Taata, bingi bye bikyamu,
Mu maaso go nze ne nswala, ate Ggwe n‟onnganza Lugaba.
5.4. Nze nno nga nkunyomye, bwe ntyo nga nkugaanyi
Tewandeka kuwaba kubula, wannoonya Ddunda, Lugaba.
6.5. Kwagala kwo Ddunda gye ndi nze kusuffu,
Wasaasira nze n‟ombiita, wantumira Omwana, Lugaba.
7.6. Zaamuyinga Yezu, zaamukaabya bambi,
N‟akomererwa ku musaalaba, n‟afa okubeera nze! Lugaba.
By:



Uri kuririmba: Indirimbo ya 142 mu Catholic luganda