Indirimbo ya 143 mu CATHOLIC LUGANDA
143. WANTONDA OW’OBUYINZA
1. | (Joseph Kyagambiddwa) 1. Wantonda, ow‟obuyinza Yezu Wannganza, ka nkubiite nange; Wankwana, nkwagala Ggwe owange, Ntwala, omulungi gy‟oli. |
Ekidd: | |
: Leero, Omutonzi wange Gwe ndayira, Mukama wange! Nfune enneema ey’okukulaba //Mbeere, Katonda wange, Eyo omulungi gy’oli. x2 | |
2. | 2. Wandyowa n‟onzigya awabi nze; Nneeyanzeege, Omulokozi Ggwe! Wansenza, sirikudduka nze, Ntuusa, Omulungi, gy‟oli. |
3. | 3. Nneesiimye olw‟okuba, Mukwano Gwe mpaana wa kisa anti kingi Nneegomba nze mmusanyuse nno, Ntuuke, Omulungi gy‟ali. |
4. | 4. Sserimba, ndikutuuka, Yezu! Gwe nsuuta, nsaasira, Omutiibwa. Wansenza, sirikudduka nze, Eyo, Omulungi gy‟oli. |
5. | 5. Gwe nninda, oluddewo okutuuka! Lwaki nno nze okudaaga bwe nti? Nkoowodde ne nkuyita ontwale Jangu, Omulungi Yezu. |
By: |