Indirimbo ya 144 mu CATHOLIC LUGANDA
144. WEEBALE OKUTWEWA
1. | Weebale okutwewa: Yezu Nga bwe wagamba: Tweyanzizza Weebale okutwewa: Yezu Nga bwe wagamba: Tweyanzeege. Ddala ddala Tweyanzizza Ddala ddala Tweyanzeege Ddala ddala Tweyanzizza Ddala ddala Tweyanzeege. |
2. | 1. Kati nga tumaze okukkusibwa n‟Omubiri gwo Mu Ukaristia entukuvu eno: Tukuume mu mukwano gwo ogw‟obulamu obutuufu. |
3. | 2. Lino Essakramentu lye tufunye Lye litufaananya Biikira Omuzadde; Anti gwe yazaala gwe tufunye Y‟atuddiza omukwano ogw‟obulamu obutuufu. |
4. | 3 Nange okuva kati, Yezu, nkulagaanya kimu; Nga bw‟onneewadde nange nkwewadde; Mu mayisa gano agange wamu ne mu birowoozo; Anti ogwo gwe mukwano ogw‟obulamu obutuufu! |
By: Kaloli Lwanga |