Indirimbo ya 145 mu CATHOLIC LUGANDA
145. WULIRA AKUYITA
Ekidd: | |
: Wulira akuyita Omukama akwagala Genda gy’ali Omukama akwagala Wulira akuyita Omukama akwagala Okwagala okusinga awo olikusanga wa ggwe! | |
1. | 1. Wulira Omukama agamba: Nnajjirira kunoonya ababuze! Mujje gye ndi ababonaabona Nnaabawummuza. |
2. | 2. Anti Yezu ge maanyi g‟abalwana Bw‟aba naffe tuba bagumu nnyo Anti Yezu lye ssanyu ly‟abalungi Era ge maanyi mu banafu abakooye. |
3. | 3. Wulira era nno okwagala okuyinga: Yezu yalonda asigalenga naffe! Era ali awo, amazima, akulinze! Kale genda, weyolekeyo ggwe! |
4. | 4. Ebyasoba eby‟edda amazima biwedde Ekisa ky‟Omukama kati kikulinze! Biri eby‟edda, mazima, biveeko! Genda ew‟Omukama, mube ba mukwano. |
By: Fr. Expedito Magembe |