Indirimbo ya 146 mu CATHOLIC LUGANDA
146. YEZU GGWE SSANYU LYANGE
1. | (Fr. Expedito Magembe) Ekidd.: Yezu bwe nkulowooza mpulira essanyu mu mwoyo, Kyokka bwe mbeera naawe mpulira okwagala okw’ekitalo Mpulira, mpulira Mukama wange nkwagala. x2 |
2. | 1. Tiwali kisanyusa nga Ggwe – tiwali, tiwali, byonna bintu bityo N‟ebivuga eby‟ebinyuma ebyo N‟ennyimba ezinyuma ezo N‟ebingi ebisanyusa ebyo N‟obugagga obw‟ensi eno N‟emikwano egy‟ensi eno. |
3. | 2. Nga nkwewuunya by‟okolera nze omwonoonyi Mukama wange onjagala nnyo Nze ani leero – gw‟owembejja nze okumbalira Mu b‟oganza mikwano gyo Ye ani leero gw‟otojuna ffenna ku nsi Mukama waffe tujja wuwo – tujja wuwo. |
4. | 3. Mpa okukulabanga mu kubonaabona Mbeeko nange ke nkukolera nga mbakwatirako Mpa okukulabanga bw‟obonaabona mbeeko nange kye nkukolera Nsaanire okubeera muganzi wo Akujjanjaba, n‟akuliisa n‟akulambula N‟akusuza ng‟oli mugwira. |
5. | 4. Nnindirira nnyo nninda – nninda akaseera Ggwe k‟omanyi Lw‟olijja n‟ontwala – n‟ontwala eyo gy‟obeera Oyanguwanga n‟onkima mukwano gwo nze omunafu Onnyambanga Ggwe Omulamuzi N‟onnamula ng‟oli wa kisa Ndiraba ntya ntudde eri n‟abalungi abalondemu Nga nkulabako nti ddala ddala? Ha! Mukama wange lulikya ddi? Lwe nneesunga, lwe nneegomba. |
By: |