Indirimbo ya 150 mu CATHOLIC LUGANDA
150. YEZU WEEBALE KUKKIRIZA
1. | (Fr. Vincent Bakkabulindi) Bonna:Yezu weebale kukkiriza kuyingira mwange! Eddembe lizzeewo, kaakati ndi muggya! Nze nnyumba ya Katonda Ekidd: Guno omukwano gw’onjolesezza si mutene Yezu, Nnantabwaza gw’okyazizza nnaagunyweza ntya Nnaakola era kye nnaasobola obutagutta. |
2. | 1. Singa mpisa obulungi ne nnywerera ku Yezu Kwe kwebaza okutuufu nze nnyumba ya Katonda Ne nneeresa ebikyamu ebisika ebyensi eno Olwo eggulu nga lyange nze nnyumba ya Katonda Olwo eggulu nga lyange nze nnyumba ya Katonda. x2 |
3. | 2. Yezu, Ggwe kkubo nja kwewala obukyamu Mbeere ne Yezu wange nga nkwata bulungi Ebigambo byo eby‟obulamu: Anti akugoberera Taatambulirenga mu nzikiza, Yezu, Ggwe kkubo! |
4. | 3. Yezu ge mazima! Nnaalwanyisa obulimba Nnaalwanyisa obukuusa: Yezu nnongoosa, N‟ogwange omutima gube ng‟ogugwo. |
5. | 4. Yezu bwe bulamu! Obulamu mbwetaaga sikyaddayo Kufa mu mwoyo ka nnewale ekibi Kabaka Yezu! Nneeyanze nnyo! Omutima gwange gwonna guli ku Ggwe wekka, Omulabe siimuggulire kuyingira. x2 (Ddamu: Yezu weebale kukkiriza ……..) |
By: |