Indirimbo ya 151 mu CATHOLIC LUGANDA
151. YEZU YE MUGENYI WANGE
1. | (Fr. Gerald Mukwaya) Ekidd.: Yezu ye mugenyi wange Nkyazizza Nnyini-bulamu Alintwala eyo mu ggulu Mu budde obw’okufa. |
2. | 1. Wakyogera ayi Mukama Anti alya Ennyama yange N‟anywa era n‟Omusaayi gwange Nti ndimuzuukiza. |
3. | 2. Maria Mmange olwaleero Nteekwa okukwebaza Ggwe eyatuzaalira nnyini Omugenyi wange. |
4. | 3. Mmwe Bamalayika mwenna Muyimbe alleluia Nammwe abakristu bannange Muddemu alleluia. |
5. | 4. Nzikiriza era nsuubira Byonna bye wagamba Mpa okukwagalira ddala Okutuusa okufa. 5. Ekitiibwa kibe kimu Patri, Mwana, Mwoyo Wonna mu ggulu ne mu nsi Emirembe gyonna. |
By: |